Psalms 66

Ya mukulu wa bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.

1 aYimbira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, ggwe ensi yonna.
2 bMuyimbe ekitiibwa ky’erinnya lye.
Mumuyimbire ennyimba ezimusuuta.
3 cGamba Katonda nti, “Ebikolwa byo nga bya ntiisa!
Olw’amaanyi go amangi
abalabe bo bakujeemulukukira.
4 dAb’omu nsi yonna bakuvuunamira,
bakutendereza,
bayimba nga bagulumiza erinnya lyo.”

5 eMujje mulabe Katonda ky’akoze;
mulabe eby’entiisa by’akoledde abaana b’abantu!
6 fEnnyanja yagifuula olukalu.
Abantu baasomoka omugga n’ebigere nga temuli mazzi,
kyetuva tujaguza.
7 gAfuga n’amaanyi ge emirembe gyonna;
amaaso ge agasimba ku mawanga,
ab’omutima omujeemu baleme okumujeemera.

8 hMutendereze Katonda waffe, mmwe amawanga;
eddoboozi ery’okumutendereza liwulirwe wonna.
9 iOyo y’atukuumye ne tuba balamu,
n’ataganya bigere byaffe kuseerera.
10 jKubanga ggwe, Ayi Katonda, otugezesezza,
n’otulongoosa nga bwe bakola ffeeza mu muliro.
11 kWatuteeka mu kkomera,
n’otutikka emigugu.
12 lWaleka abantu ne batulinnyirira;
ne tuyita mu muliro ne mu mazzi,
n’otutuusa mu kifo eky’okwesiima.

13 mNnaayambukanga mu yeekaalu yo n’ebiweebwayo ebyokebwa,
ntuukirize obweyamo bwange gy’oli,
14nga ndeeta ekyo emimwa gyange kye gyasuubiza;
akamwa kange kye kaayogera bwe nnali mu kabi.
15 nNnaawaayo gy’oli ssaddaaka ez’ensolo ensava,
mpeeyo ne ssaddaaka ey’endiga ennume;
mpeeyo ente ennume n’embuzi.

16 oMujje muwulire, mmwe mwenna abatya Katonda,
mbategeeze ebyo by’ankoledde.
17Namukaabirira n’akamwa kange,
ne mutendereza n’olulimi lwange.
18 pSinga nnali nsirikidde ekibi mu mutima gwange,
Mukama teyandimpulirizza;
19 qddala ddala Katonda yampuliriza era n’awulira eddoboozi lyange nga nsaba.
20 rKatonda atenderezebwenga,
atagobye kusaba kwange,
wadde okunziggyako okwagala kwe okutaggwaawo!
Copyright information for LugEEEE